Ecclesiastes 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwagala kwabwe, obukyayi n'obuggya bwabwe byonna byabulawo dda; tebikyalina na mugabo mu ebyo ebikolebwa wansi w'enjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe nga bizikiridde; nga tebakyetaba mu ebyo byonna ebikolebwa wansi w’enjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'obuggya bwabwe byonna bizikiridde, so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwagala kwabwe, n'okukyawa kwabwe, n'okwegomba kwabwe, biba olwo tebikyaliwo, era baba tebakyaddayo kwetaba mu kintu na kimu ekikolebwa ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwagala kwabwe kwenkana n'okukyawa n'obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba.