Ephesians 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye naffe mwe yatweroboleza ng'obusika, nga bwe yatuteebeza ng'aggya ku ntegeka ye, oyo atuukiriza byonna ng'agoberera enteesa y'okwagala kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu oyo naffe mwe twafuukira abasika, bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akola byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kristo mwe twalonderwa ne twawulibwa okuba abantu ba Katonda, kubanga eyo ye yali entegeka ya Katonda akola byonna nga bw'asiima,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu oyo naffe mwe twafuukira obusika bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akoza byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe;