Ephesians 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ye nammwe mwawulira ekigambo ky'amazima, Evangili y'okulokoka kwammwe, ne mumukkiriza, ne mussibwako akabonero ka Mwoyo Mutuukirivu omusuubize,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu oyo nammwe, abawulira ekigambo eky'amazima, Enjiri ey'obulokozi n'okukkiriza bwe mwakkiriza, mwateekebwako envumbo ey'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu Kristo nammwe mwawulira ebigambo eby'amazima, ge Mawulire Amalungi ag'okulokolebwa kwammwe. Mwakkiriza Kristo, era ekiraga nti muli babe, Katonda yabassaako akabonero, ng'abawa Mwoyo Mutuukirivu gwe yasuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nammwe mu ye, bwe mwawulira ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwammwe, mu oyo, n'okukkiriza bwe mwakkiriza, ne muteekebwako akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa,