Ephesians 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa nga tubufunye, ekitiibwa kye kifune ettendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo Mutuukirivu oyo ye atukakasa nti Katonda bw'alimala okununula abantu be, tulifuna ebyo Katonda bye yatusuubiza, tutendereze ekitiibwa kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.