Ephesians 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nno olw'okuwulira nga bwe mukkiriza Omukama Yezu n'engeri gye mwagalamu abatuukirivu bonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, n'okwagala kwe mulaga abatukuvu bonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, okuva lwe nawulira nti mukkirizza Mukama Yesu, era nti mwagala abantu ba Katonda bonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, era kwe mulaga eri abatukuvu bonna,