Ephesians 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amulise amaaso g'omutima gwammwe, mutegeere essuubi lye yabayitira, n'obungi bw'ekitiibwa eky'obusika bwe bwe yawa abatuukirivu be,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyoyo gyammwe bwe gibikkulibwa mulyoke mumanye essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, n'obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsaba, emyoyo gyammwe gyeyongere amagezi, mumanye ebyo Katonda bye yabasuubiza bwe mwayitibwa, era mumanye n'obugagga obungi, abantu be bwe bafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mumulisibwanga amaaso ag'omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli,