Ephesians 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'obukulu bw'amaanyi ge amasukkirivu g'ayoleseza mu ffe abakkiriza, mu bikolwa by'obuyinza n'amaanyi ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'obukulu obw'amaanyi ge agasinga ennyo eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nsaba mumanye amaanyi ge amasukkirivu, agakolera mu ffe. Amaanyi ago,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era obukulu obusinga ennyo obw'amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola,