Ephesians 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'asukkulumye okusinga obukungu bwonna, n'obuyinza, n'amaanyi, n'obufuzi, na buli linnya eryali lituumiddwa, si mu mulembe guno gwokka, naye ne mu gulijja;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
waggulu ennyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'afuga abafuzi n'ab'obuyinza, n'ab'amaanyi, era n'abakungu bonna, si mu bulamu buno bwokka, naye ne mu obwo obugenda okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
waggulu nnyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja: