Ephesians 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe yatweroboleza mu ye nga n'ensi tennabangibwawo, tubeere batuukirivu nga tetuliiko musango mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu era abatalina kyakunnenyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda, ng'ayita mu Kristo yali yamala dda okutulonda nga n'ensi tennatondebwa, tube batukuvu, era abataliiko kamogo mu maaso ge. Olw'okutwagala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu abatalina kabi mu maaso ge mu kwagala: