Ephesians 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatuteebeza mu kwagala kwe okwebonanyizibwa ng'abaana ng'ayita mu Yezu Kristu, nga bwe yateekateeka mu kwagala kwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yatwawula edda mu kwagala okubeera abaana be okuyita mu Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okuteesa kwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yatufuula baana be, ng'ayita mu Yesu Kristo, nga bwe yateesa mu kusiima kwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe,