Ephesians 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yatuwa okumanya ekyama ky'okwagala kwe, nga kwe kusiima kwe, nga bwe yateesa atyo mu Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yatumanyisa mu magezi n'okutegeera ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, okusinziira ku nteekateeka ze yategeka edda mu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yatumanyisa ekyama eky'okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe yatutegeeza ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, nga bwe yamalirira edda mu ye,