Ephesians 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo no mujjukire ng'olumu mwali b'amawanga mu buzaale obw'omubiri, nga muyitibwa abatali batayirire abo abatayirire ab'okutayirirwa okwali okw'omubiri nga kukoleddwa bantu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;