Ephesians 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, temukyali bagwira oba basuze busuze, naye muli bannansi wamu n'abatuukirivu n'ab'omu maka ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe mutyo temukyali bannamawanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo temukyali Bannamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n'abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe mutyo temukyali bannaggwanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda,