Ephesians 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naffe ffenna edda twalinga kimu nabo, nga tutwalibwa amaddu g'omubiri gwaffe, nga tukola ebyo emibiri n'emitima gyaffe bye gyegomba; mu buzaale, nga tuli zzadde eryasunguwalirwa nga bwe kyali ku balala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe fenna abo be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naffe ffenna twali bajeemu nga bo, nga tutwalibwa okwegomba kwaffe okubi okw'omubiri, era nga tukola ebyo omubiri n'amagezi gaffe bye byagala. Okufaanana ng'abantu abalala bonna, naffe twali tuteekwa buteekwa okubonerezebwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naffe fenna be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala: