Ephesians 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bwe twali tukyali bafu olw'ebibi byaffe, yatuzzaamu obulamu wamu ne Kristu – eneema ye ye yabalokola, -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe twali nga tufiiridde mu bujeemu bwaffe, yatuzuukiza wamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ffe bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),