Ephesians 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kati amagezi ga Katonda ag'engeri ennyingi galyoke gamanyisibwe abafuzi n'ab'obuyinza mu ggulu nga kino kiyita mu Ekleziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yakigenderera atyo, ng’ayita mu kkanisa, alyoke yeeyoleke eri amaanyi n’obuyinza ebiri mu nsi ey’omwoyo eya waggulu, ng’abalaga nga bw’alina amagezi amangi ag’ebika eby’enjawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano ng'ayita mu kkanisa, Katonda ayagala amanyise amagezi ge amangi, eri abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi,