Ephesians 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mbeegayiridde muleke kuterebuka olw'ennaku ze nnimu ku lwammwe; kye kitiibwa kyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenva mbeegayirira muleme kuterebuka olw’okubonaabona kwange ku lwammwe, kubanga ekyo kibaleetera kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.