Ephesians 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsuubira nti temwalema kuwulirako nga bwe nakwasibwa ku lwammwe omulimu ogw'eneema ya Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwawulira ekisa kya Katonda kye naweebwa okubayamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nsuubira nga mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ku lwa mmwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe;