Ephesians 3:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo, ng'ayita mu buyinza obukolera mu ffe, akola n'ayitiriza n'okuyitiriza ku kye tuba tusabye oba tulowooza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,