Ephesians 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mubisoma musobola okulaba nga bwe nategeera ekyama kya Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaasoma ebbaluwa eno mujja kusobola okutegeera ebyo bye mmanyi ku kyama kya Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaasoma bino munaamanya okutegeera kwange okw'ekyama kya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo;