Ephesians 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekitaamanyisibwa bantu mu mirembe giri nga Mwoyo bw'akimanyisizza kaakano Abatume be abatukuvu n'abalanzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro eby’edda, tewali yali amanyi kyama ekyo okutuusa Omwoyo wa Katonda bw’akibikkulidde abatume be abatukuvu ne bannabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo ekitaategeezebwa baana b'abantu, mu mirembe egy'edda nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo;