Ephesians 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti n'abamawanga nabo bafuuse basika wamu naffe, nabo bitundu bya mubiri, abagabana ku bisuubizo mu Kristu Yezu olw'Evangili.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kyama kye njogerako: olw’enjiri ya Kristo, Abaamawanga balisikira wamu ne Isirayiri ekyo Katonda kye yasuubiza, era baliba omubiri gumu, era ne bagabanira wamu ekisuubizo ekyo mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno y'engeri ab'amawanga gye babeera, abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu mu byasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'Enjiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri,