Ephesians 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ye Vangili gye natumibwa okuweereza olw'ekirabo ky'eneema ya Katonda ekyampeebwa nga kiva mu kukola kw'amaanyi ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nafuuka omuweereza w’enjiri eyo olw’ekirabo eky’ekisa kya Katonda kye naweebwa, Katonda ng’akolera mu maanyi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'Enjiri eno, nnafuulibwa omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.