Ephesians 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange, nze asemba mu batuukirivu bonna, eneema eno yampeebwa, ab'amawanga okubabuulira obugagga bwa Kristu obuteefumiitirizika,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga nze nsembayo wansi mu batukuvu bonna, naweebwa ekisa ekyo, okubuulira Abaamawanga emikisa egiri mu Kristo egitageraageraganyizika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;