Ephesians 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okumanyisa abantu bonna ekyama kino nga bwe kigenda kikola. Kyali kikwekeddwa okuva ddi mu Katonda eyatonda byonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okumulisizanga bonna balabe entegeka ye kyama kino bwe kiri, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna;