Ephesians 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa ffenna awamu lwe tulifuuka omu mu kukkiriza ne mu kumanya Omwana wa Katonda, tutuuke ku kubeera omuntu omu atuukiridde, ne ku kwenkanankana Kristu mu bujjuvu bw'obukulu bwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo: