Ephesians 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tuleme kubeera baana bato abeekubiira eno n'eri, abayuuyizibwa buli muyaga gwa njigiriza, n'abantu abakwenyakwenya n'obukodyo bwabwe obuwubisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo nga tetukyali baana bato, abazzibwa eno n'eri, abatwalibwa mu muyaga gw'enjigiriza y'abantu abakuusa, abakyamya abalala olw'enkwe ze basala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba;