Ephesians 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu kwogera amazima mu kwagala tujja kugenda nga tukula mu buli ngeri nga tufuukamu oyo omutwe gwaffe, Kristu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tube ba mazima era abaagalana, tulyoke tukule mu byonna okutuuka ku kwegattira ddala ne Kristo, omutwe gwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;