Ephesians 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa awamu ne gweyunga bulungi mu buli nnyingo eziguliisa, ate buli kitundu bwe kiba nga kikola bulungi, ne zigukuza, ne ziguwa zityo okugenda nga gwezimba mu kwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kristo oyo ye aleetera omubiri gwonna okwegatta awamu, ennyingo ezigulimu zonna ne zinywezebwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.