Ephesians 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndowooza nga mwamuwulirako era nga mwamuyigirizibwako, ng'amazima bwe gali mu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nsuubira nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala mwawulirako, era mmwe ng'ababe, mwayigirizibwa amazima agali mu Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu: