Ephesians 4:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mweyambule nno omuntu omukadde ow'enneeyisa ey'edda, eyali ayonoonese olw'okugoberera amaddu agaamukwenyakwenyanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mweggyeko omuntu ow'edda agoberera embeera z'obulamu bwammwe ez'edda, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muleme kuba bantu ab'embeera ey'edda gye mwalimu, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba;