Ephesians 4:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadde abba, alekere awo; wabula akabassane ng'akola emirimu emirungi n'emikono gye, afune bw'atyo kw'aggya okuyamba eyeetaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyabbanga alemenga okubba nate, naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abadde abba, alekere awo okubba, wabula anyiikire okukola emirimu, ng'akozesa emikono gye, alyoke abe ne ky'awa abo abeetaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.