Ephesians 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mmwe mubuliremu ddala akadubudubu, ennyiike, obusungu, okukaalaama, okuvuma, na buli ttima lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okunyiiga, okusunguwala, okukaayana, okuvuma, na buli bubi bwonna, bibavengamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna: