Ephesians 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyebava bagamba nti: “Bwe yalinnya waggulu, yatwala eggye ly'abasibe, n'awa abantu ebirabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti, “Bwe yalinnya mu ggulu, n’atwala omunyago, n’awa abantu ebirabo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyava ayogera nti, “Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyawandiikibwa kyekiva kigamba nti: “Bwe yalinnya mu ggulu, yatwala abasibe, n'awa abantu ebirabo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.