Ephesians 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwogeraganyenga mu zabbuli, amatendo n'ennyimba entukuvu, nga muyimba, nga mutendereza Omukama n'omutima gwammwe gwonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mwogereganyanga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munyumizaganyenga mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye Mwoyo by'abasobozesa okuyiiya. Muyimbire Mukama, nga musaakaanya amaloboozi n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe;