Ephesians 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutambulire mu kwagala nga mulabira ku Kristu nga bwe yatwagala ne yeewaayo okubeera ffe ng'ekitambiro kye yatambirira Katonda ekiwunya akawoowo ak'akaloosa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo eky'evvumbe eriwunya obulungi era ssaddaaka eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mwagalanenga, nga Kristo bwe yatwagala, ne yeewaayo eri Katonda ku lwaffe, okuba ekirabo era ekitambiro ekiwunya obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi.