Ephesians 5:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewabanga akyawa mubiri gwe, naye aguliisa, n'agulabirira, nga Kristu bw'alyowa Ekleziya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali n'omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa, agujjanjaba, nga Kristo bw'ajjanjaba ekibiina ky'abamukkiriza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjaajaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa;