Ephesians 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe kigwanira abatuukirivu, mu mmwe temumenyerwangamu bwenzi, buseegu n'okululunkanira ebintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, kubanga ebyo tebigwanira batukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muli bantu ba Katonda, n'olwekyo obwenzi n'obugwagwa bwonna, n'okwegomba okubi tebisaana na kwogerebwa mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu