Ephesians 5:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ku mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekyawandiikibwa kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n'anywerera ku mukazi we, bombi ne baba omuntu omu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu kyanaavaaga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.