Ephesians 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebabaguyanga n'ebigambo ebitaliimu; ebintu ng'ebyo bye bireetera Katonda okusunguwalira abajeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walemenga kubaawo ababuzaabuza n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebikolwa ebyo, obusungu bwa Katonda bukola ku bantu abajeemu
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.