Ephesians 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwambalenga mubune ebyokulwanyisa ebya Katonda, musobole okuziyiza obukodyo bwa Sitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwambalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukozesenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okuziyiza enkwe za Sitaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.