Ephesians 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tetulwanyisa mubiri na musaayi, naye tulwanyisa abakungu n'ab'obuyinza, tulwanyisa abafuga ensi ey'enzikiza eno, tulwanyisa emyoyo emibi egy'eyo waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetulwanyisa bantu buntu, wabula tulwanyisa amagye g'emyoyo emibi egy'omu bbanga, egy'abakungu, egy'ab'obuyinza, n'egy'abafuzi ab'omu nsi eno ey'ekizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.