Ephesians 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mukwatenga ebyokulwanyisa bya Katonda, lwe munaasobola okutala ku lunaku olw'akabi, nga mumaze okukola kyonna ekisoboka, musigale nga muli banywevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mutwalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo mukwatenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, musobole okuguma ku lunaku olw'akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli bagumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.