Ephesians 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyimirirenga nno, nga mwesibye ebimyu, ge mazima, nga mwambadde n'ekizibawo eky'ekyuma, bwe butuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muyimirire nga mwenywezezza, ng'amazima lwe lukoba lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng'okukola ebituufu, kye kyambalo kyammwe eky'ekyuma eky'omu kifuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,