Ephesians 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwegayirirenga ebbanga lyonna mu Mwoyo, nga muweereza essaala n'okuwanjaga. Olwa kino temukoowa kutunula nga musabira abatuukirivu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musabenga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna. Mutunulenga n'okugumiikiriza nga musabiranga abatukuvu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo musabenga Katonda, nga mumwegayirira abayambe. Mumusabenga nga Mwoyo bw'anaabaluŋŋamyanga. Ekyo mukikolenga nga temuterebuka, musabirenga abantu ba Katonda bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonna mu kunyiikiranga kwonna n’okwegayiririranga abatukuvu bonna,