Ephesians 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
gye natumirwa eno mu nvuba ng'omubaka, ngirangirire nga bwe nteekeddwa okwogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo nze gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndi mubaka w'Amawulire ago Amalungi newaakubadde nga ndi mu kkomera. Munsabire mbe n'obuvumu mu kugamanyisa abantu nga bwe kinsaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.