Ephesians 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe abazadde mulekenga kunyiiza baana bammwe, naye mubagunjulenga mu mpisa ennungi ne mu bibuuliriro by'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe, naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abazadde b'abaana muleme kunyiizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula, era nga mubayigiriza ebya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.