Ephesians 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abaddu, nga bwe muwulira Kristu, bwe muba muwuliranga ne bakama bammwe ab'oku nsi, mu kutya ne mu kukankana, nga temussaamu kantu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaddu, bakama bammwe ab'oku nsi mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubawulirenga nga temuliimu bukuusa, nga bwe muwulira Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo;