Ephesians 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga mumanyi nti buli omu, oba muddu oba si muddu, buli ky'aliba akoze empeera yaakyo aligifuna okuva ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mumanyi nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye nti buli muntu, oba muddu, oba wa ddembe, buli kirungi ky'akola, Mukama ky'alimusasula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mumanyil nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe.