Ephesians 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe bakama baabwe, abaweereza mubayisenga mu ngeri ye emu; muleke kubawerera, nga mumanyi nti Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu era ye taliimu kusosola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa, nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe bakama b'abaddu muyisenga bwe mutyo abaddu bammwe mu mwoyo gwe gumu,nga temubatiisa. Mumanyi nti Mukama waabwe, era owammwe ali mu ggulu, era ye tasosola mu bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.